MAAMA ERA GWE KALE! Faridah Nakazibwe ayogedde ku bufumbo bwa Joel Ssenyonyi, abikudde ekyama ku by’okwambala engule ya Bobi Wine

MAAMA ERA GWE KALE! Faridah Nakazibwe ayogedde ku bufumbo bwa Joel Ssenyonyi, abikudde ekyama ku by’okwambala engule ya Bobi Wine

Munnamawulire wa NTV, Faridah Nakazibwe naye avuddeyo ku nsonga z’omwogezi w’ekisinde ki People Power Joel Ssenyonyi okukuba mukyala we empeta.
Ssenyonyi nga y’omu ku basuubirwa okwesimbawo ng’omubaka wa Palamenti e Nakawa mu kulonda kwa 2021, olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, yakubye kabiite we empeta ku mukolo ogwabaddeko abantu batono ddala.

Wabula Nakazibwe asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagrama okuyozayoza Ssenyonyi era agambye nti, “Congratulations my brother @joelssenyonyi. Engule esoose ojambadde“.

Aba People Power bagamba nti okuwangula Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kulonda kwa 2021 kigenda kubayamba okwambala engule wabula Nakazibwe agamba nti Ssenyonyi okufuna omukyala, kiraga nti ayambadde engule esoose.

 

The post MAAMA ERA GWE KALE! Faridah Nakazibwe ayogedde ku bufumbo bwa Joel Ssenyonyi, abikudde ekyama ku by’okwambala engule ya Bobi Wine appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "MAAMA ERA GWE KALE! Faridah Nakazibwe ayogedde ku bufumbo bwa Joel Ssenyonyi, abikudde ekyama ku by’okwambala engule ya Bobi Wine"

Post a Comment