KITALO! Entiisa ebutikidde abatuuze, ssemaka afiiridde mu ntiisa, Poliisi erangiridde ekiddako

KITALO! Entiisa ebutikidde abatuuze, ssemaka afiiridde mu ntiisa, Poliisi erangiridde ekiddako

Poliisi etandiise okunoonyereza ku kyavuddeko Edward Muwawu myaka 40 abadde omutuuze mu Zzooni y’e Masajja, Kikajjo, Makindye-Ssabagabo okufa.

Okusinzira ku Juma Kiyimba myaka 23 nga y’akulira ebyokwerinda mu zzooni y’e Masajja, abatuuze bekengedde olw’ekivundu ekyabadde kiva mu nnyumba y’omugenzi ssaako n’enswera kwekumutemyako.

Kiyimba agamba nti amangu ddala Poliisi yayitiddwa kyokka bageenze okutuuka mu nnyumba, maaso gatuukidde ku mulambo.

Poliisi y’omu Kikajjo, yasobodde okuleeta Kabangali ya Poliisi, omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agamba nti alipoota ya basawo eraga nti omulambo tegusangiddwako kiwundu kyonna era okunoonya okuzuula ekituufu ku kyavuddeko omugenzi okufa, kutandikiddewo mbagirawo.

The post KITALO! Entiisa ebutikidde abatuuze, ssemaka afiiridde mu ntiisa, Poliisi erangiridde ekiddako appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "KITALO! Entiisa ebutikidde abatuuze, ssemaka afiiridde mu ntiisa, Poliisi erangiridde ekiddako"

Post a Comment