
Kyaddaki Angella Katatumba yejjusa okusuulawo nannayini waaya Daddy Andre, awadde ensonga 4 lwaki musajja wanjawulo nnyo wadde teyakwatako
Baca Juga
Omuyimbi Angella Katatumba alaze lwaki yejjusa okusuulawo nannayini waaya Daddy Andre wadde musajja mulungi nnyo.
Angella yali mu laavu ne Andre omwaka oguwedde ogwa 2019 kyokka mu kiseera kino buli omu ali ku bibye oluvanyuma lw’okwawukana.
Mu kiseera, Andre y’omu ku bayimbi abayimba obulungi ate Polodyusa mulungi nnyo, ekimufudde ow’enjawulo ku balala.
Angella agamba nti wadde yali ayagala nnyo Andre, baayawukana kuba yagaana okugenda ku musaayi okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya era naye yagaana okumuwa omukisa okugikwatako.

Wadde Angella yasuulawo Andre, awadde ezimu ku nsonga lwaki musajja wanjawulo nnyo ku basajja abalala.
Talenti. Angella agamba nti Andre musajja alina talenti y’okuyimba era mu Uganda y’omu ku bayimbi abayimba obulungi.
Afaayo ku Mukyala. Angella agamba nti Andre alina omukwano ate afaayo nnyo ku mukyala (Care) kuba mu kiseera nga ndi naye mu mukwano, omusajja yandaga laavu kuba yasasaanya obukadde obusukka 20.
Ategeera Omukyala. Mu nsi y’omukwano, omusajja alina okuwa omukyala ekitiibwa mu mbeera yonna. Angella agamba nti abaddeko mu mukwano n’abasajja ab’enjawulo kyokka Andre ategeera omukyala era y’emu ku nsonga lwaki musajja wanjawulo ku balala.
Alabika ategeera Omukwano. Angella ali mu kwejjusa kuba wadde yali mu laavu ne Andre, teyafuna mukisa kulaba ku waaya ya Andre wadde okugikwatako kuba yagaana okumuwaako. Mu kiseera naye tamanyi oba Andre atageera bulungi ensonga z’omu kisenge.
The post Kyaddaki Angella Katatumba yejjusa okusuulawo nannayini waaya Daddy Andre, awadde ensonga 4 lwaki musajja wanjawulo nnyo wadde teyakwatako appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Kyaddaki Angella Katatumba yejjusa okusuulawo nannayini waaya Daddy Andre, awadde ensonga 4 lwaki musajja wanjawulo nnyo wadde teyakwatako"
Post a Comment