GIWE EKITIIBWA! Abawagizi batabukidde Nwagi okunyigiriza omuntu wa wansi, abaanukudde mu bukambwe, ‘Oli waddembe okwasama’

GIWE EKITIIBWA! Abawagizi batabukidde Nwagi okunyigiriza omuntu wa wansi, abaanukudde mu bukambwe, ‘Oli waddembe okwasama’

Abawagizi b’omuyimbi Winnie Nwagi bakangudde ku ddoboozi olw’engeri omuyimbi waabwe gy’asukkiridde okuwebuula ekitiibwa ky’abakyala.

Mu kiseera nga bannayuganda bali mu Kalantini ne Kafyu olwa ‘Corona Virus’, Nwagi yatadde ekifaananyi ku mukutu ogwa Instagram ng’ali mu mpale ya bulaaka kyokka yabadde emukutte nnyo.

Ekifaananyi kitabudde abawagizi be nga bagamba nti asukkiridde okuwebuula ekitiibwa kya bakyala kuba alemeddwa okulaga nti ddala mukyala alina okuwa omubiri gwe ekitiibwa mu mbeera yonna wadde muyimbi.

Abawagizi ba Nwagi bagamba nti,

Principled_Hawa – Am sorry to say this but it looks so indescent , naye banange abaana balina enaku, turning to the age of holding a smart phone only to find out that ur mother used to expose her womanhood like this, such shameless things are the reasons God is annoyed with this generations and u are the reasons of Covid 19 , am ur fun but such pics wouldn’t be exposed , sikakuba celeb ,nedda mwemalamu nyoo ekitiibwa just to attract people’s attraction, Ani gwolaga atalina kale, mpoli ur fellow men prostitutes.

Rytah Jovie – Omuntu wawansi anyigilibwa buh y
B_cheune – Winnie omwezi guno wakanguza sabuuni emirundi esatu and it’s not even 15th yet!
Xander6901 – Omuntu wawansi nga anyigilizibwa
Mugerwa.Ivan.507 – Naye omutu wawansi atulugu nyizibwa bby gal

Wadde abantu balina okwemulugunya ku nnyambala ye, Nwagi abaanukudde mu bukambwe era agambye nti, “Oli waddembe okwasama kasta tomanyiila“.

The post GIWE EKITIIBWA! Abawagizi batabukidde Nwagi okunyigiriza omuntu wa wansi, abaanukudde mu bukambwe, ‘Oli waddembe okwasama’ appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "GIWE EKITIIBWA! Abawagizi batabukidde Nwagi okunyigiriza omuntu wa wansi, abaanukudde mu bukambwe, ‘Oli waddembe okwasama’"

Post a Comment