Ziizino ensi 22 ezitalina ‘Coronavirus’, Bannansi basiiba mu kaboozi okwewala okutambula okufuna obulwadde
Ng’ensi yonna eri ku bunkenke okulwanyisa ekirwadde ki Covid-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka Coronavirus, nate waliwo amawanga 22 obulwadde gye butanatuuka.
Ensi ezitalina bulwadde ziri mu Africa ne Asia era bannansi mu mawanga ago tebalina kutya kwonna.
Mu Africa, amawanga kuliko South Sudan, Burundi, Botswana, Western Sahara, Sierre Leone, Guinea Bissau, Lesotho, Comoros, Malawi ne Sao Tome.
Mu Asia kuliko North Korea, Turkmenistan, Tajikistan, Yemen, Marshall Islands, Cook Islands, Micronesia, Nauru, Palau, Samoa ne Solomon Islands.
Abakugu mu by’obulamu bagamba nti ensi ezitalina bulwadde kivudde ku bintu eby’enjawulo omuli okulemwa okwekebejja abantu mu ggwanga n’okuggala ensalo nga tebakkiriza muntu yenna kuyingira mu ggwanga.
Amawanga agasinze okukosebwa Covid-19 kuliko America erina abalwadde 123,781 ate abaakafa 2,229, Italy erina abalwadde 92,472 abaakafa 10,023, China erina abalwadde 81,439 ate abaakafa 3,300 ne Spain erina abalwadde 73,235 n’abaakafa 5,982.
Mu nsi yonna abalwadde bali 672,086 ate abaakaga 31,191.
The post Ziizino ensi 22 ezitalina ‘Coronavirus’, Bannansi basiiba mu kaboozi okwewala okutambula okufuna obulwadde appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Ziizino ensi 22 ezitalina ‘Coronavirus’, Bannansi basiiba mu kaboozi okwewala okutambula okufuna obulwadde"
Post a Comment