TUBIKOOYE! Kyaddaki Poliisi eyogedde lwaki Gen. Tumukunde yakwattiddwa mu bukambwe, ayolekedde okuvundira mu kkomera

TUBIKOOYE! Kyaddaki Poliisi eyogedde lwaki Gen. Tumukunde yakwattiddwa mu bukambwe, ayolekedde okuvundira mu kkomera

Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku nsonga z’okukwata Munnamaggye eyawummula Lt. Gen Henry Tumukunde.

Tumukunde yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 2 ez’ekiro okuva mu makaage e Kololo era yakwattiddwa ebitongole by’okwerinda eby’enjawulo nga bikulembeddwamu akulira bambega ba poliisi, Grace Akullo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Gen Tumukunde yakwattiddwa ku misango gy’okulya mu nsi ye olukwe.

Enanga agamba nti Gen. Tumukunde ng’asinzira ku laadiyo ne ttivvi abadde asasaanya ebigambo ebijjudde obukyayi, ebiyinza okutabangula eggwanga.

Mungeri y’emu ateegezezza nti Gen Tumukunde alina eggwanga lye yasaba ku mulirwano okuvaayo okuyambako okukyusa obuyinza mu ggwanga lino mu ngeri yonna omuli n’okweyambisa akalulu.

Enanga era agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe enkya ya leero bigenda kwekebejja amaka ga Gen. Tumukunde okuzuula oba alina ebizibiti ku musango ogumuvunaanibwa ogw’okulya mu nsi olukwe.

Agamba nti Poliisi erina okukuuma abantu n’okutangira embeera eyinza okutabangula eggwanga nga Gen. Tumukunde okukwattibwa, kabonero akalaga nti bannayuganda bonna balina okweddako mu kusasaanya ebigambo ebisiiga obukyayi n’ebiyinza okuvaako okutabangula eggwanga.

The post TUBIKOOYE! Kyaddaki Poliisi eyogedde lwaki Gen. Tumukunde yakwattiddwa mu bukambwe, ayolekedde okuvundira mu kkomera appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "TUBIKOOYE! Kyaddaki Poliisi eyogedde lwaki Gen. Tumukunde yakwattiddwa mu bukambwe, ayolekedde okuvundira mu kkomera"

Post a Comment