Pulezidenti Museveni afulumizza ekiragiro ekikambwe eri Bannayuganda lwa ‘Coronavirus’, alagidde amaggye okuyambako

Pulezidenti Museveni afulumizza ekiragiro ekikambwe eri Bannayuganda lwa ‘Coronavirus’, alagidde amaggye okuyambako

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni afulumizza ekiragiro ekipya ku nsalo zonna eza Uganda olw’ekirwadde kya Covid-19 ekisasanyizibwa akawuka ka Corona virus.

Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ng’asinzira mu maka g’obwa Pulezidenti Entebe , yalangiridde nti ensalo zonna eziyingira eggwanga Uganda zigaddwawo.

Mungeri y’emu yagambye nti tewali muntu yenna akirizibwa kuyingira Uganda wadde okufuluma.

Pulezidenti Museveni era agamba nti ne ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe, ennyonyi zonna ezitambuza abantu ziwereddwa okuyingira Uganda kuba bayinza okuleeta obulwadde.

Museveni agamba nti, “Humans crossing into Uganda from the different border points are prohibited going forward. This is until we find a coordination at the East African level. Please stay where you are. We are not against anyone but this is about manageability. No passenger planes will be allowed to land in Uganda or leave. Only cargo planes and their crew members will be allowed in the country. Meanwhile, those sneezing should keep away from the public“.

Museveni era agambye nti ennyonyi zokka ezitambuza ebyamaguzi zezirina okuyingira Uganda ssaako n’emmotoka nga ziriko abantu 3 bokka okumala ennaku 32 zokka.

The post Pulezidenti Museveni afulumizza ekiragiro ekikambwe eri Bannayuganda lwa ‘Coronavirus’, alagidde amaggye okuyambako appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Pulezidenti Museveni afulumizza ekiragiro ekikambwe eri Bannayuganda lwa ‘Coronavirus’, alagidde amaggye okuyambako"

Post a Comment