LABA ESSANNYU! Okuyamba abaana abaliko obulemu, aba D. Light bawaddeyo ebintu bya bukadde e Mukono

LABA ESSANNYU! Okuyamba abaana abaliko obulemu, aba D. Light bawaddeyo ebintu bya bukadde e Mukono

Kkampuni eyegulidde erinnya mu kutunda amasanyalaze g’amaanyi g’enjuba mu Uganda eya D.Light Uganda enkya ya leero, eddukiridde abayizi abaliko obulemu ku ssomero lya Bishop West Primary School mu disitulikiti ye’ Mukono, abegatira mu kibiina kyabwe ekya Upendo Mukono Charity Foundation.

Aba D. Light, bakwasizza abakulira essomero Sola y’amataala mukaaga (6) okuyambako abayizi abaliko obulemu, omusoma mu kiseera ng’ amasanyalaze gavuddeko.

Mungeri y’emu bawaddeyo ebintu ebirala omuli omuceere, sukkaali, ssooda n’amasaati nga byonna bya bukadde bwa ssente.

Okusinzira ku Ben Okello, ssenkulu wa D. Light Uganda, basazeewo okuyamba abayizi ku Bishop West primary School, olwa abakulira essomero okuvaayo okwenyigira mu kuyamba abaana abaliko obulemu.

Mungeri y’emu agambye nti aba D. Light Uganda ekimu ku kigendererwa kyabwe kya kukyusa bulamu bw’abantu era okuvaayo okuyamba abaana abaliko obulemu, kibawa essannyu.

Ate abadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okukwasa abakulira essomero ebintu by’abayizi abaliko obulemu Mufuwa Steven nga y’amyuka ssentebbe wa disitulikiti y’e Mukono, yebazizza aba D. Light Uganda okuba n’omutima omugabi.

Mufuwa asabye abazadde okukomya okusibira abaana mu nnyumba abaliko obulemu kuba kityoboola eddembe ly’obuntu n’okulemesa abaana okutuukiriza ebirooto byabwe.

Upendo Mukono Charity Foundation yatandikibwawo Herbert Makulu mu 2008 era asobodde okuyamba abaana bangi ddala okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo abaliko obulemu.

 

The post LABA ESSANNYU! Okuyamba abaana abaliko obulemu, aba D. Light bawaddeyo ebintu bya bukadde e Mukono appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "LABA ESSANNYU! Okuyamba abaana abaliko obulemu, aba D. Light bawaddeyo ebintu bya bukadde e Mukono"

Post a Comment