FFENNA KITUKWATAKO! Rema avuddemu omwasi olwa Gavumenti okuyimiriza ekivvulu kya Kenzo, awadde bannayuganda amagezi
Eyali mukyala wa Eddy Kenzo, Rema Namakula avuddemu omwasi ku kya Gavumenti okuyimiriza ebivvulu byonna mu ggwanga okumala ennaku 32.
Akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu, Pulezidenti Yoweri Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe, yagambye nti Gavumenti erina okukola ebintu eby’enjawulo okutangira ssenyiga we China Covid-19, aleetebwa akawuka aka Coronavirus.
Okutangira Covid-19, Museveni yaggadde amasomero, amatendekero aga waggulu, amasinzizo, ebifo ebisanyukirwamu omuli ebbaala zonna, okuyimiriza ebivvulu, enkungaana n’ebifo ebirala.
Ku Instagram, Rema agambye nti, “I’m trying to stay calm but terrified on the inside… This virus let’s take all the necessary precautions as we wait on God… he knows best“.
The post FFENNA KITUKWATAKO! Rema avuddemu omwasi olwa Gavumenti okuyimiriza ekivvulu kya Kenzo, awadde bannayuganda amagezi appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "FFENNA KITUKWATAKO! Rema avuddemu omwasi olwa Gavumenti okuyimiriza ekivvulu kya Kenzo, awadde bannayuganda amagezi"
Post a Comment