Omukozi w’awaka agaanye okwegatta n’omutabani omukulu, attiddwa mu ntiisa, omulenzi akwattiddwa poliisi

Omukozi w’awaka agaanye okwegatta n’omutabani omukulu, attiddwa mu ntiisa, omulenzi akwattiddwa poliisi

Poliisi mu kibuga Lagos mu ggwanga erya Nigeria ekutte omwana ku by’okutta omukozi w’awaka.

Ajijola Mutiu yakwattiddwa ku by’okutuga omukozi n’okumutunga ekyambe ku mutwe era omulambo, gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.

Ku Poliisi, omwana agambye nti omukozi yagaanye okwerigomba naye ate nga buligyo amwegomba.

Mungeri y’emu agambye nti yatuuse awaka ng’abazadde bakyali ku mulimu era yabadde asuubira nti omukozi, tagenda kumukaluubiriza kyokka yewunyiza okugaana okwegata.

Obusuungu, yamuyingiza ekisenge namutuga okutuusa lwe yafudde oluvanyuma kwe kumutunga ekyambe ku mutwe emirundi egisukka 3.

Omuwala eyattiddwa ategerekeseeko erya Abigal ali mu gy’obukulu 17 ate omulenzi eyamusse ali ku yinivasite ali mu gy’obukulu 21.

Poliisi egamba nti omulenzi aguddwako gwa butemu era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

The post Omukozi w’awaka agaanye okwegatta n’omutabani omukulu, attiddwa mu ntiisa, omulenzi akwattiddwa poliisi appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Omukozi w’awaka agaanye okwegatta n’omutabani omukulu, attiddwa mu ntiisa, omulenzi akwattiddwa poliisi"

Post a Comment