OMG! Taata asaddase muwala we myaka 3 lwa bugagga, amugyemu omutima oluvanyuma lw’okumusobyako
Poliisi mu ggwanga erya Nigeria ekutte taata ku by’okutta muwala we myaka 3 mu ngeri y’okusaddakibwa.
Akinbode Abdulkareem myaka 38 nga mutuuze mu ssaaza lye Ogun yakwattiddwa.
Ku Poliisi, taata agambye nti muwala we, yasoose kumusobyako oluvanyuma naamutta kuba yabadde yetaaga ebitundu eby’enjawulo omuli omutima n’ensigo, ebyamutumiddwa omusawo w’ekinnansi.
Mungeri y’emu agambye nti omusawo w’ekinnansi yasuubiza nti asaddaka omwana we, y’engeri yokka egenda okumuyambako, okulwanyisa obwavu.
Abatuuze, batabuse nga baagala okumutta wabula Poliisi esobodde okumutaasa.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agambye nti Abdulkareem essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku misango gy’obutemu.
The post OMG! Taata asaddase muwala we myaka 3 lwa bugagga, amugyemu omutima oluvanyuma lw’okumusobyako appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "OMG! Taata asaddase muwala we myaka 3 lwa bugagga, amugyemu omutima oluvanyuma lw’okumusobyako"
Post a Comment