NDI MUNYIVU NNYO! Frank Gashumba atabukidde Nnalulungi Abenakyo ku kye yakoze, amulangidde era amuswazizza eri bannayuganda – Audio

NDI MUNYIVU NNYO! Frank Gashumba atabukidde Nnalulungi Abenakyo ku kye yakoze, amulangidde era amuswazizza eri bannayuganda – Audio

Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda alaze nti munyivu nnyo eri Quiin Abenakyo myaka 24 eyali Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika 2018 – 2019.

Abenakyo enzaalwa ey’e Mayuge mu Busoga era mu Uganda ye muwala eyasooka okuwangula ekya Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika ku mikolo egyali mu ggwanga erya China mu 2018.

Wabula Gashumba agamba nti mu kiseera nga Abenakyo anoonya obuwagizi ng’ali mu China, ye munnayuganda eyasookera ddala okweyambisa omukutu gwe ogwa Face Book, okusaba abantu okumulonda kyokka oluvanyuma lw’okuwangula, teyavaayo kumwebaza.

Gashumba agamba nti abaddugavu si bangu kuba Abenakyo oluvanyuma lw’okuwangula ng’akomyewo mu Uganda, yandibadde wakiri amukubira essimu okumwebaza.

The post NDI MUNYIVU NNYO! Frank Gashumba atabukidde Nnalulungi Abenakyo ku kye yakoze, amulangidde era amuswazizza eri bannayuganda – Audio appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "NDI MUNYIVU NNYO! Frank Gashumba atabukidde Nnalulungi Abenakyo ku kye yakoze, amulangidde era amuswazizza eri bannayuganda – Audio"

Post a Comment