Bino ebintu tubigyemu omuzannyo, wuuno omusajja alemeddeko okusaba Jazmine omukwano mu lwatu, mpaayo omukisa bambi
Wuuno omusajja alaze nti ye mwetegefu okusaba omuyimbi Lydia Jazmine omukwano wakati mu kusoomozebwa ng’abasajja ab’enjawulo bamusaba omukwano.
Jazmine mu kiseera kino talina musajja amanyikiddwa newankubadde bangi ku bawagizi b’omuyimbi Eddy Kenzo bagamba nti Jazmine ye mukyala omutuufu agwanidde okudda mu bigere bya Rema Namakula.
Mu mbeera eyo, wuuno omusajja babza shah alaze nti Jazmine ye mukyala yekka ali ku mutima gwe mu kiseera kino.
Babza asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okutegeeza Jazmine ensonga ze era agambye nti, “Jazmine bino ebintu tubigyemu omuzannyo buh u r rlly becoming a problem in ma heart seriously love u so much yo so smart bambi kip t up waiting for #Nkwateko“.
The post Bino ebintu tubigyemu omuzannyo, wuuno omusajja alemeddeko okusaba Jazmine omukwano mu lwatu, mpaayo omukisa bambi appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Bino ebintu tubigyemu omuzannyo, wuuno omusajja alemeddeko okusaba Jazmine omukwano mu lwatu, mpaayo omukisa bambi"
Post a Comment