Omusajja attiddwa mu bukambwe lwa bijanjalo, Poliisi erangiridde ekiddako

Omusajja attiddwa mu bukambwe lwa bijanjalo, Poliisi erangiridde ekiddako

Poliisi e Kabale atandiise okunoonyereza ku ngeri omusajja myaka 21 gye yattiddwamu akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Mugyenyi Fideri abadde amanyikiddwa nga Kadogo abadde mutuuze ku kyalo Kanyakutana mu ggombolola y’e Maziba mu disitulikiti y’e Kabale, yakubiddwa abatuuze okutuusa lwe yafudde.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, Mugyenyi kati omugenzi, abatuuze baamusangirizza ng’abba ebijanjalo by’omutuuze Simon Karegyeya ku kyalo Kyeyero mu ggombolola y’e Maziba.
Maate agamba nti wadde Mugyenyi yattiddwa, Poliisi etandiise okunoonyereza abantu bonna abaatwalidde amateeka mu ngalo, bakwatibwe era bakagavvulwe ku misango gy’okutta omuntu.

The post Omusajja attiddwa mu bukambwe lwa bijanjalo, Poliisi erangiridde ekiddako appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Omusajja attiddwa mu bukambwe lwa bijanjalo, Poliisi erangiridde ekiddako"

Post a Comment