Imaamu Katumba eyawasa omukyala omusajja asindikiddwa mu kkomera, aguddwako emisango emikambwe lwa butagikwatako okuvumbula bwefaanana

Imaamu Katumba eyawasa omukyala omusajja asindikiddwa mu kkomera, aguddwako emisango emikambwe lwa butagikwatako okuvumbula bwefaanana

Shiekh Muhammad Katumba myaka 27 nga Imaamu w’omuzikiti gw’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Kayunga asindikiddwa ku Limanda mu kkomera lye  Ntenjeru okutuusa nga 24, January, 2020.

Shiekh Katumba yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Irene Akello owa kkooti esookerwako e Kayunga era yaguddwako emisango 2 omuli okweyisa mu ngeri egendereddwamu okukyusa obutonde ng’aganza musajja munne ssaako n’okukiriza okuwasa omuntu ow’ekikula ekimu naye.

Shiekh Katumba avunaanibwa ne Richard Tumushabe eyali yeyita Swabullah Nabukeera wabula Shiekh Katumba agamba nti yaferebwa, yali amanyi afunye omukyala omulungi okumunazaako ennaku.

Imaamu Katumba agamba nti yawuunga bwe yakitegedde nti ssente zonna ze yasaasaanya mu kwanjula yazisaasaanyiza ku musajja munne.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Sheikh Mutumba ne Tumushabe bazza emisango egyo mu December wa 2019.

Kigambibwa Sheikh Mutumba yawasa Tumushabe nga 15, December, 2019 musajjawattu tamanyi afunye omukyala kyokka yalabirawo nga yawasa mu musajjamunne oluvanyuma lwa Tumushabe okukwattibwa Poliisi ku misango gy’obubbi omuli okubba ttiivi ssaako n’engoye okuva ku neyiba mu sabiti 2 zeyamala mu ddya lya Imaamu Katumba.

The post Imaamu Katumba eyawasa omukyala omusajja asindikiddwa mu kkomera, aguddwako emisango emikambwe lwa butagikwatako okuvumbula bwefaanana appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Imaamu Katumba eyawasa omukyala omusajja asindikiddwa mu kkomera, aguddwako emisango emikambwe lwa butagikwatako okuvumbula bwefaanana"

Post a Comment