BAMBI! Omwana asobezeddwako kirindi abasajja 4, atwaliddwa mu ddwaaliro ng’awulira ebbugumu mu bitundu by’ekyama
Poliisi y’e Sironko etandiise okunoonyereza ku ngeri omuwala omuto gye yasobezeddwako abasajja bataano (5) omulundi gumu.
Omwana eyasobezeddwako atemera mu gy’obukulu 16, nga muyizi ku ssomero lya Busiita Primary School mu kibiina eky’omukaaga (P6) ku kyalo Buwoliwa mu ggombolola y’e Busiita mu disitulikiti y’e Sironko.
Poliisi ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon, Robert Tukei abasajja baasobezza ku mwana kirindi ekiro ky’olunnaku olwomukaaga era yasangiddwa ng’ali mu mbeera mbi.
Tukei agamba nti omwana baamuteeze mu kkubo bwe yabadde ava ku Pate ya mukwano gwe mu ggombolola y’e Bumasifwa ku ssaawa nga 4 ez’ekiro.
Poliisi egamba nti omwana, yasuubiziddwa okuttibwa singa akuba enduulu era bonna 5 baamusobezaako awuuna buwuunyi.
Ku Poliisi, omwana agamba nti yategeddeko abasajja abaamusobezzaako, ekiwadde Poliisi esuubi nti bonna bagenda kukwatibwa.
Omwana, abasawo basobodde okumwekebejja ne kizuulibwa nti yakoseddwa nnyo ebitundu by’ekyama era awereddwa eddagala okumutangira endwadde, bwe kiba nti ku basajja kiteberezebwa kwabaddeko omulwadde.
The post BAMBI! Omwana asobezeddwako kirindi abasajja 4, atwaliddwa mu ddwaaliro ng’awulira ebbugumu mu bitundu by’ekyama appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "BAMBI! Omwana asobezeddwako kirindi abasajja 4, atwaliddwa mu ddwaaliro ng’awulira ebbugumu mu bitundu by’ekyama"
Post a Comment