Awereza Eby’Emizanyo Ku BBS Terefayina Akubidwa Abasirikale Ba LDU Emigoba Nte E Wankulukuku

Awereza Eby’Emizanyo Ku BBS Terefayina Akubidwa Abasirikale Ba LDU Emigoba Nte E Wankulukuku

Olunaku lw’eggulo mu mupiira ogwabadewo e Wankulukuku nga tiimu y’omupiira eya Vipers ekubwa tiimu ya Kajjansi United, wabadewo olutalo vvaawo mpitewo nga omupiira guwedde.

Kino kyabadewo nga akukundi ka bawagizi ba Vipers kalumbye omutendesi wa tiimu yabwe Edward Golola nga balaga obutali bumativu n’entendeka ku tiimu yabwe.

Abasirikale bano abamanyidwa nga aba LDU nga akade kano bakubide wali amakanda gabwe e Wankulukuku bakubye ne basotta buli kiramu nga bakozesa wire zamasanyalaze era nga muno mwebakubide ne munamawulire wa BBS Terefayina Bagala Peace Diane aka Nalongo.

Bagala Peace Diane yakubidwa nyo abasirikale era nga bamulese apookya na biwuundu.

Oluvanyuma omutendesi wa bakwaasi ba goolo ba tiimu ya URA omukulu Billy Kiggundu yatasiza Diane ku basirikale ababade batasalwaako musale bwatyo Bagala Peace nadusibwa mu dwaliro okufuna obujanjabi.

The post Awereza Eby’Emizanyo Ku BBS Terefayina Akubidwa Abasirikale Ba LDU Emigoba Nte E Wankulukuku appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Awereza Eby’Emizanyo Ku BBS Terefayina Akubidwa Abasirikale Ba LDU Emigoba Nte E Wankulukuku"

Post a Comment