Omuyimbi Rema Namakula awangudde ‘Award’, asiimye abawagizi be okumwerabiza ennaku ya Kenzo ey’okudduka akaboozi emyaka 2

Omuyimbi Rema Namakula awangudde ‘Award’, asiimye abawagizi be okumwerabiza ennaku ya Kenzo ey’okudduka akaboozi emyaka 2

Omuyimbi Rema Namakula awangudde ‘Award’ mu Buzz Teeniez Awards era kiraze nti y’omu ku bakyala abalina talenti y’okuyimba.

Oluyimba lwa Rema ne B2C, ‘Gutujja’ lwalondeddwa nga Kolabo esiinze mu mwaka 2019.

Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okusiima abawagizi be okumuwagira ye ne banne aba B2C, “Thank you so much for the love ladies and gentlemen. Thank you buzz Teeniez Awards“.

Oluyimba Gutujja mulimu ebigambo bya Rema ebigamba nti,”Olina omukwano ogutalina alina, onkoona mubiri magumba nga musekuzo, Wampa laavu babby wampa kwekkusa, Wamponya bu love nigger bu ssemyekozo, would you mind would Mind? calling your phone at any time?”.

Mu luyimba, Kenzo yasobodde okuggyamu ebigambo, “bu love nigger bu ssemyekozo” era yafulumiza oluyimba “ssemyekozo” ku ntandikwa ya November, 2019.

The post Omuyimbi Rema Namakula awangudde ‘Award’, asiimye abawagizi be okumwerabiza ennaku ya Kenzo ey’okudduka akaboozi emyaka 2 appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Omuyimbi Rema Namakula awangudde ‘Award’, asiimye abawagizi be okumwerabiza ennaku ya Kenzo ey’okudduka akaboozi emyaka 2"

Post a Comment