Kyaddaki Bebe Cool avuddeyo ku nsonga za Sheilah Gashumba, akoze nga taata okutereeza ensonga, aweseza aba ‘silent majority’ ekitiibwa
Kyaddaki omuyimbi Bebe Cool avuddeyo ku nsonga z’omuwala Sheilah Gashumba okumuyamba ku bufumbo bwe.
Okuva sabiti ewedde, Sheilah abadde mu maziga ng’alumiriza omuwala amanyikiddwa nga Amanda okulemberamu okutabangula obufumbo bwe ne Ali Marcus Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan.
Kigambibwa, Sheilah abadde akukuta n’omuyimbi Grenade era mbu beekuba amatooke mu ngeri y’okwejjukanya kuba bombi baali baagalana.
Wabula Bebe Cool asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okuwa Sheilah amagezi era agambye nti Sheilah alina okwesonyiwa endowooza z’abantu, ajja kuwangula, “Mind less about public opinion and you will win”.
0 Response to "Kyaddaki Bebe Cool avuddeyo ku nsonga za Sheilah Gashumba, akoze nga taata okutereeza ensonga, aweseza aba ‘silent majority’ ekitiibwa"
Post a Comment