BAMBI! Wuuno omukyala abadde ayonsa omwana wa neyiba nga mulwadde wa sirimu akwattiddwa, omwana ateekeddwa ku mpeke za ARV’s, maama ali mu maziga
Bya Nalule Aminah
Poliisi y’e Nabweru ekutte omukazi Sharon Muhindo ku by’okuyonsa omwana wa neyiba ate ng’alina akawuka akaleeta sirimu.
Muhindo omutuuze w’e Nabweru South cell 1 era yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’abatuuze banne okwekubira enduulu nga bwaludde ng’ayonsa omwana wa neyiba era omwana yakebeddwa ng’alina akawuka.
Kigambibwa Muhindo yasangiddwa lubona ng’aliko omwana wa munne gwayonsa.
Abatuuze baavudde mu mbeera era yatwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa kyokka oluvanyuma kyazuuliddwa nti naye mulwadde.
Abatuuze bagamba nti Muhindo y’omu ku bakyala abalina ekisa era y’emu ku nsonga lwaki babadde bamwesiga okumulekera abaana.
Shakirah Tushemeirirwe maama w’omwana eyateekeddwa ku ddagala asabye abantu okumuddukira okufuna obusobozi obulabirira omwana we eyateekeddwa ku mpeke za ARV’s eriweebwa abalina sirimu.
Eddoboozi lya Maama
Abatuuze abamu bagamba nti balina okwekebejja abaana ba baneyiba abalala kuba Muhindo ayinza okuba abadde abayonsa nga balwadde.
Ku nsonga eyo, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owesigyire agambye nti okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo era essaawa yonna Muhindo wakutwalibwa mu kkooti ku musango gw’obulagajjavu eri abaana.
Eddoboozi lya Luke
0 Response to "BAMBI! Wuuno omukyala abadde ayonsa omwana wa neyiba nga mulwadde wa sirimu akwattiddwa, omwana ateekeddwa ku mpeke za ARV’s, maama ali mu maziga"
Post a Comment